Joshua 19

Omugabo gwa Simyoni

1 aN’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda. 2 bKyali kitwaliramu
Beeruseba, oba Seba, ne Molada,
3ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu, 4ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma, 5ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa 6ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.
7 cAyini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo, 8 dn’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.
Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
9 eEttaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.

Ensi ya Zebbulooni

10 fAkakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi.
11 gEnsalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu. 12Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya. 13 hOkuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea. 14Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri; 15 ine Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu
Besirekemu Ekyogerwako wano si kyekimu ne Besirekemu ekya Yuda (1Sa 17:12; Lus 1:1)
, ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.
16 kOgwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Isakaali

17 lAkalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali: 18 mOmugabo gwabwe gwalimu
Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu,
19ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi, 20ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi, 21ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.
22 nEnsalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani.
Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
23 oOgwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Aseri

24 pN’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 25Ekitundu kyabwe kyalimu
Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu,
26 qne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi, 27 rne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono. 28 sNe kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene. 29 tEnsalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu, 30ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.
31 uOgwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Ensi ya Nafutaali

32Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
33N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani. 34N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.
35 vN’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi, 36 wne Adama ne Laama ne Kazoli, 37 xne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli, 38ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi,
ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.
39 yOgwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.

Omugabo gwa Ddaani

40Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. 41N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu
Zola ne Esutaoli ne Irusemesi
42 zne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula 43 aane Eroni ne Timuna ne Ekuloni 44ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi 45 abne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni 46 acne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.
47 adNaye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.
48 aeOgwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Omugabo gwa Yoswa

49Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo 50 afng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.

51 agBino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.
Copyright information for LugEEEE